Colossians 2:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwekkaanye, tewabaawo abezza nga yeeyamba ebya filozofiya n'obulimba omutali kantu ebisimbye ku mpisa z'abantu obuntu ne ku bintu ensi mwe yakolebwa, ebitasimbye ku Kristu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mwekuumenga walemenga kubaawo n’omu ku mmwe abuzibwabuzibwa mu bufirosoofo ne mu by’obulimba ebitaliimu, okugobereranga obulombolombo obw’abantu n’ebiyigirizibwa abantu. Munywererenga ku biyigirizibwa ku Kristo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mwekuume tewabeerangawo muntu abanyaga mu bufirosoofo n'eby'obulimba ebitaliimu, n'ebiyigirizibwa abantu mu buwangwa bwabwe bo, n'okugoberera emyoyo egy'ensi, okutali kugoberera Kristo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwekuumenga waleme kubaawo ababuzaabuza, n'abafuula abaddu, ng'akozesa ebigambo eby'amagezi ag'abantu obuntu agataliimu nsa, era ag'obulimba, abantu ge bayigiriza, nga bageesigamya ku buyinza bw'emisambwa, sso si ku Kristo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mwekuume tewabeerangawo muntu abanyaga mu bufirosoofo n'eby'obulimba ebitaliimu, okugobereranga ebyayigirizibwa abantu okugobereranga eby'olubereberye eby'ensi, okutali kugoberera Kristo