Colossians 3:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno, oba mwazuukizibwa ne Kristu, munoonye ebiri waggulu eyo Kristu gy'ali ng'atudde ku gwa ddyo ogwa Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nga bwe mwazuukirira awamu ne Kristo, munoonyenga ebintu ebiri mu ggulu, Kristo gy’atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale oba nga mwazuukirira wamu ne Kristo, munoonyenga ebiri waggulu, Kristo gy'ali ng'atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwazuukira wamu ne Kristo. N'olwekyo mulowoozenga ku biri mu ggulu, Kristo gy'atudde ng'aliraanye Katonda, mu kifo ekisinga eby'abalala ekitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale oba nga mwazuukirira wamu ne Kristo, munoonyenga ebiri waggulu, Kristo gy'ali ng'atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.