Colossians 3:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo tewaba ono Mugereeki, ono Muyudaaya, ono mutayirire ono si mutayirire, ono mugwira, ono si mugunjufu, ono muddu, ono mwana wa ddembe; wabula Kristu ye byonna mu byonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olwo tewaba kwawulamu, Muyonaani na Muyudaaya, eyakomolebwa n’ataakomolebwa, Omunnaggwanga, n’Omusukusi, omuddu n’ow’eddembe, wabula Kristo ye byonna, era abeera mu ffe ffenna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo waba tewakyali kwawula Muyonaani na Muyudaaya, eyakomolebwa n'ataakomolebwa, munnaggwanga n'Omusukusi, omuddu n'ow'eddembe, naye Kristo bye bintu byonna era yali mu byonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo waba tewakyali kwawulamu Muyonaani na Muyudaaya, mukomole n'atali mukomole, munnaggwanga, atali mugunjufu, muddu oba ow'eddembe, wabula Kristo ye byonna, era ye ali mu byonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo tewayinza kubeerawo Muyonaani n'Omuyudaaya, okukomolwa n'obutakomolwa, munnaggwanga, Omusukusi, omuddu, ow'eddembe: naye Kristo bye bintu byonna ne mu byonna.