Colossians 3:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mulekeraganenga, era musonyiwaganenga nga wabaddewo alina ekigambo ku munne; ng'Omukama bwe yabasonyiwa, nammwe bwe muba mukola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe wabangawo omuntu yenna alina ensonga ku munne, muzibiikirizaganenga, era musonyiwaganenga. Nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa era nammwe musonyiwaganenga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga muzibiikirizagananga, era nga musonyiwagananga mwekka na mwekka, omuntu yenna bw'abeeranga n'ensonga ku muntu munne; era nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa mmwe, era nammwe musonyiwaganenga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mugumiikirizaganenga era musonyiwaganenga buli lwe wabangawo alina kye yeemulugunyiza munne. Muteekwa okusonyiwagana mu ngeri ye emu nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa mmwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga muzibiikirizagananga, era nga musonyiwagananga mwekka na mwekka, omuntu yenna bw'abeeranga n'ensonga ku muntu munne; era nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa mmwe, era nammwe bwe mutyo: