Colossians 3:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kungulu kwa bino byonna mwambalirengako okwagala, kye kifundikwa ekisibira byonna awamu mu butuukirivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okwagala kwe kusinga ebintu ebirala byonna, kubanga kwe kunyweza ebintu byonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku ebyo byonna era mwambalireko okwagalana, kubanga kwe kunyweza ebintu byonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ku ebyo byonna, mwongereeko okwagalana. Okwo kwe kunyweza ebintu byonna awamu, mu kutabagana okujjuvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ku ebyo byonna era mwambale okwagalana, kye kintu ekinyweza okutuukirira.