Colossians 3:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekigambo kya Kristu kibukale mu mmwe mu bugagga bwakyo bwonna. Buli omu ayigirize munne, abuulirire munne mu magezi gonna. Muyimbirenga Katonda mu mitima gyammwe zabbuli, amatendo n'ennyimba entukuvu nga mwebaza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekigambo kya Kristo mu bugagga bwakyo kibeerenga mu mmwe, mu magezi gonna nga muyigirizagananga era nga mubuuliragananga mwekka na mwekka mu Zabbuli, ne mu nnyimba, ne mu biyiiye eby’omwoyo nga muyimbira Katonda nga mujjudde ekisa mu mitima gyammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekigambo kya Kristo kibeerenga mu mmwe n'obugagga mu magezi gonna; nga muyigirizagananga era nga mulabulagananga mwekka na mwekka mu zabbuli n'ennyimba n'ebiyiiye eby'Omwoyo, nga mwebaza Katonda mu mitima gyammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekigambo kya Kristo, mu bugagga bwakyo bwonna, kibeerenga mu mitima gyammwe. Muyigirizaganenga era mubuuliriraganenga mu magezi gonna. Nga mujjudde okwebaza mu mitima gyammwe, Katonda mumuyimbire zabbuli, n'ennyimba, n'ebiyiiye, Mwoyo by'abasobozesa okuyiiya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekigambo kya Kristo kibeerenga mu mmwe n'obugagga mu magezi gonna; nga muyigirizagananga era nga mulabulagananga mwekka na mwekka mu zabbuli n'ennyimba n'ebiyiiye eby'Omwoyo, nga muyimbira Katonda mu kisa mu mitima gyammwe.