Colossians 3:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli kye mukola, kibeere mu bigambo oba mu bikolwa, mukikolenga mu linnya lya Mukama Yezu, nga mwebaza Katonda Taata nga muyita mu ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Na buli kye munaakolanga mu kigambo oba mu kikolwa, byonna mubikolenga mu linnya lya Mukama waffe Yesu nga muyita mu ye okwebaza Katonda Kitaffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era buli kye munaakolanga, mu kigambo oba mu kikolwa, mukolerenga byonna mu linnya lya Mukama waffe Yesu, nga mwebaza Katonda Kitaffe nga muyita mu ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli kintu kye mwogera oba kye mukola, mukikolenga mu linnya lya Mukama waffe Yesu, nga muyita mu ye okwebaza Katonda Kitaffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era buli kye munaakolanga, mu kigambo oba mu kikolwa, mukolerenga byonna mu linnya lya Mukama waffe Yesu, nga mwebaza Katonda Kitaffe ku bubwe.