Colossians 3:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abazadde, temunyiizanga baana bammwe, sikulwa nga baggwaamu omutima.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nammwe bakitaabwe temunyiizanga baana bammwe baleme okuddirira mu mwoyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bakitaabwe, temunyiizanga baana bammwe, balemenga okuddirira mu mwoyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakitaabwe b'abaana, temukaluubirizanga baana bammwe okutuuka okwenyiwa, sikulwa nga baterebuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bakitaabwe, temunyiizanga baana bammwe, balemenga okuddirira omwoyo.