Colossians 3:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaddu, muwulirenga mu buli kintu bakama bammwe ab'oku nsi, si lwa kulabibwa, kyenkana ng'abanoonya okutendebwa abantu, naye mukozenga mutima gumu nga mutya Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaddu, muwulirenga bakama bammwe ab’omu nsi mu bintu byonna, si kubasanyusa lwa kubanga babalaba, naye mubagonderenga n’omutima ogutaliimu bukuusa, nga mutya Mukama waffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaddu, muwulirenga bakama bammwe ab'omu nsi mu byonna, si kubasanyusa kubanga ba balaba, naye mubagonderenga n'omutima ogutalimu bukuusa, nga mutya Mukama waffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaddu, bakama bammwe ab'oku nsi mubawulirenga mu byonna, si lwa kulabibwa kyokka, ng'abaagala okusiimibwa abantu, naye mubaweerezenga n'omutima ogutaliimu bukuusa, nga mussaamu Mukama waffe ekitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaddu, muwulirenga bakama bammwe ab'omu mubiri mu byonna, si mu kuweereza okw'okungulu ng'abasiimibwa abantu, wabula mu mutima ogutalina bukuusa, nga mutya Mukama waffe: