Colossians 3:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akola obubi alisasulibwa olw'ensobi ze yakola, ate tewali kusosola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kubanga ayonoona, alisasulwa olw’ebikolwa bye, so tewaliba kusosola mu bantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ayonoona alisasulwa nga bwe yayonoona, so tewaliba kusaliriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyo akola ekibi, alibonerezebwa olw'ekibi kye yakola, kubanga tewaliba kusaliriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ayonoona aliweebwa nate nga bwe yayonoona: so siwali kusosola mu bantu.