Colossians 3:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mutte buli kya nsi ekibalimu: obwenzi, obuseegu, amaddu, okwegomba okubi, n'okululunkanira ebintu, leero ekiba okusinza ebitaliimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo temufugibwa bikolwa byammwe eby’omubiri, byonna mubitte. Gamba nga: obwenzi, n’obutali bulongoofu, n’obukaba, n’okwegomba okw’ensonyi, n’okuyaayaana; kye kimu n’okusinza bakatonda abalala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale mufiise eby'ensi mu mmwe: obwenzi, obugwagwa, okwegomba okw'ensonyi, omululu n'okuyaayaana, kwe kusinza ebifaananyi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale mutte okwegomba okubi okuli mu mmwe: obwenzi, obugwagwa, obukaba, okwegomba okw'ensonyi, n'omululu, kwe kusinza ebitali Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale mufiise ebitundu byammwe ebiri ku nsi; obwenzi, obugwagwa, okwegomba okw'ensonyi, omululu omubi, n'okuyaayaana, kwe kusinza ebifaananyi;