Colossians 3:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nammwe luli bino mwe mwatambuliranga bwe mwali mukyabirimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ate nga nammwe edda mwe mwatambuliranga, bwe mwabikolanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era nammwe mu ebyo mwe mwatambuliranga edda, bwe mwabikolanga ebyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era nammwe ebyo bye mwakolanga edda mu bulamu bwammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era nammwe mu ebyo mwe mwatambuliranga edda, bwe mwali abalamu mu byo.