Colossians 3:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati ebyo byonna mubisse ebbali: obusungu, ennyiike, okuwaayiriza, okuvuma n'enjogera embi eziva mu kamwa kammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kaakano mweyambulemu ebintu ebyo byonna; obusungu, n’ekiruyi, n’ettima, n’okuvvoola, n’okunyumya emboozi ey’ensonyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kaakano era nammwe muggyeewo byonna, obusungu, ekiruyi, ettima, okuvuma, era n'okunyumya eby'ensonyi mu kamwa kammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye kaakano bino byonna mubireke: obusungu, ekiruyi, n'ettima. Okuvvoola era n'emboozi embi biremenga kuva mu kamwa kammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye kaakano era nammwe muggyeewo byonna, obusungu, ekiruyi, ettima, okuvuma, okunyumya eby'ensonyi mu kamwa kammwe: