Colossians 4:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne Yezu gwe baakazaako erya Yusito. Bano be bokka abava mu batayirire mu abo bwe tukola omulimu gw'obwakabaka bwa Katonda; babadde kikubagizo gye ndi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne Yesu ayitibwa Yusito abalamusizza. Abo be Bayudaaya, bakozi bannange bokka mu bwakabaka bwa Katonda, abaanzizaamu amaanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne Yesu ayitibwa Yusito babalamusizza. Abo be b'omu bakomole bokka, bakozi bannange mu bwakabaka bwa Katonda, abanzizaamu essuubi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne Yesu, ayitibwa Yusto, abalamusizza. Abo be bokka ab'omu bakomole abakola nange omulimu ogw'Obwakabaka bwa Katonda, era abanzizizzaamu ennyo amaanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne Yesu ayitibwa Yusito, ab'omu bakomole: abo bokka be bakozi bannange olw'obwakabaka bwa Katonda, abansanyusanga.