Colossians 4:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Epafura, omu ku mmwe, omuweereza wa Kristu Yezu, abatumidde; ono bulijjo abalwanirira mu ssaala ze muleme kugwa, wabula mutuukirire bulungi era munywere ddala ku ekyo Katonda ky'ayagala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Epafula ow’ewammwe, omuddu wa Kristo Yesu, afuba bulijjo ku lwammwe okubasabira, mulyoke muyimirirenga nga munywedde mu kukkiriza era nga mutegeereranga ddala mu byonna Katonda by’ayagala, abalamusizza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Epafula, ow'ewammwe, omuddu wa Kristo Yesu, abalamusizza, afuba ennaku zonna okubasabira mu kusaba kwe, mulyoke muyimirirenga nga muli batuukirivu era nga mutegeerera ddala mu byonna Katonda by'ayagala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Epafura ow'ewammwe, omuweereza wa Kristo Yesu, abalamusizza. Era bulijjo abasabira nnyo, mube batuukirivu, abategeeredde ddala Katonda by'ayagala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Epafula, ow'ewammwe, omuddu wa Kristo Yesu, abalamusizza, afuba ennaku zonna ku lwammwe mu kusaba kwe, mulyoke muyimirirenga nga muli batuukirivu era nga mutegeerera ddala mu byonna Katonda by'ayagala.