Colossians 4:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mugambe Arikippo nti: “Wekkaanye, laba nti omulimu gwe wafuna mu Mukama ogutuukiriza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era mugambe Alukipo nti, “Ssaayo omwoyo ku kuweereza kwe waweebwa mu Mukama waffe, okutuukirize.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era mugambe Alukipo nti, “Laba ng'otuukiriza okuweereza kwe waweebwa mu Mukama waffe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era mugambe Arikipo nti: “Fuba okutuukiriza omulimu gwa Mukama waffe gwe wakwasibwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era mugambe Alukipo nti Weekuumenga okuweereza kwe waweebwa mu Mukama waffe, okukutuukiriza.