Daniel 1:10 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Asupenaazi n’agamba Danyeri nti, “Ntidde mukama wange kabaka, eyalagidde mulye emmere eyo n’ebyokunywa ebyo. Singa anaabalaba nga mukozze okusinga abavubuka abalala ab’emyaka gyammwe, kabaka ajja kunzita.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omukulu w'abalaawe n'agamba Danyeri nti, “Ntidde mukama wange kabaka, eyabalagira bye munaalyanga ne bye munaanywanga. Singa anaabalaba nga mukozze, nga temulabika bulungi nga abavubuka bannammwe abalala, kabaka ayinza okunzita.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka omukulu w'abaweereza oyo, n'agamba Daniyeli nti: “Mukama wange kabaka mmutya. Ye yennyini ye yalagira bye munaalyanga ne bye munaanywanga. Kale singa temulabika bulungi nga bavubuka bannammwe abalala, obulamu bwange kabaka ayinza okubukolako akabi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omukulu w'abalaawe n'agamba Danyeri nti Ntidde mukama wange kabaka, eyabalagira bye munaalyanga ne bye munaanywanga: kubanga kiki ekiriba kimulabya amaaso gammwe nga tegafaanana bulungi ng'abavubuka abenkana nammwe obukulu? Bwe gutyo omutwe gwange gwandirabye akabi eri kabaka.