Daniel 1:13 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’oluvannyuma otugeraageranye n’abavubuka abalala abalya ku mmere ya kabaka, olyoke okole nga bw’onoolaba.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'oluvannyuma otugerageranye n'abavubuka abalala abalya ku mmere ya kabaka, olyoke osalewo eky'okukola ng'osinzira ku ndabika gye tuliba tulabikamu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo olitugeraageranya n'abavubuka abalya emmere eva ku lujjuliro lwa kabaka, olyoke osalewo eky'okukola okusinziira ku ndabika gye tuliba tulabikamu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amaaso gaffe galyoke gakeberwe w'oli, n'amaaso g'abavubuka abaalyanga ku mmere ya kabaka: era nga bw'oliraba, okole bw'otyo eri abaddu bo.