Daniel 1:18 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ekiseera kabaka kye yalagira abavubuka bonna baleetebwe, bwe kyatuuka, Asupenaazi n’abaleeta n’abalaga eri Nebukadduneeza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ekiseera kabaka Nebukadduneeza kye yalagira baleetebwe mu maaso ge, bwe kyatuuka, omukulu w'abalaawe n'abamwanjulira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiseera Kabaka Nebukadunezzari kye yalagira banjulibwe gy'ali bwe kyatuuka, omukulu w'abaweereza n'abatwala, n'abamwanjulira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ennaku bwe zaggwa, kabaka ze yagamba okubayingiza, omukulu w'abalaawe n'abayingiza mu maaso ga Nebukadduneeza.