Daniel 1:19 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka n’ayogera nabo, ne mutalabika mu bo bonna eyenkanaankana nga Danyeri, ne Kananiya, ne Misayeri ne Azaliya mu kutegeera; kyebaava baweebwa emirimu egy’obuvunaanyizibwa mu lubiri lwa kabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka n'anyumya nabo, era mu bonna ne mutalabika abaali nga Danyeri, Kananiya, Misayeri ne Azaliya: kyebaava bafuulibwa abaweereza ba kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'ayogera nabo, era mu bonna, n'asinga kusiimamu Daniyeli, Hananiya, Misayeli, ne Azariya. Abo abana kyebaava bafuulibwa abaweereza ba kabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka n'anyumya nabo: ne mu abo bonna ne mutalabika abaali nga Danyeri, Kananiya Misayeri, ne Azaliya: kyebaava bayimirira mu maaso ga kabaka.