Daniel 1:5 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka n’alagira baweebwenga ku mmere ne ku wayini ebyagabulwanga ku mmeeza ya kabaka. Baali baakutendekebwa okumala emyaka esatu, n’oluvannyuma bagende baweereze kabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka n'abalagira baweebwenga buli lunaku ku mmere ya kabaka, ne ku mwenge gwe yanywanga, babaliisenga bwe batyo okumala emyaka esatu, bwe giriggwaako balyoke bagende baweereze kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'alagira nti buli lunaku babawenga emmere n'omwenge eby'oku lujjuliro lwa kabaka, babaliisenga bwe batyo okumala emyaka esatu, bwe giriggwaako, balyoke babatwale babanjule mu maaso ga kabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka n'abalagira omugabo ogwa bulijjo ogw'oku mmere ya kabaka, n'ogw'oku mwenge gwe yanywanga, era babaliisize emyaka esatu: bwe giriggwaako balyoke bayimirire mu maaso ga kabaka.