Daniel 1:7 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Asupenaazi n’abawa amannya amaggya: Danyeri n’amutuuma Berutesazza, Kananiya n’amutuuma Saddulaaki, Misayeri n’amutuuma Mesaki, ne Azaliya n’amutuuma Abeduneego.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omukulu w'abalaawe n'abatuuma amannya amaggya: Danyeri n'amutuuma Berutesazza, Kananiya n'amutuuma Saddulaaki, Misayeri n'amutuuma Mesaki ne Azaliya n'amutuuma Abeduneego.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukulu w'abaweereza abalaawe n'atuuma abalenzi abo amannya gano: Daniyeli n'amutuuma Belutesazzari, Hananiya n'amutuuma Saduraki, Misayeli n'amutuuma Meesaki, Azariya n'amutuuma Abedinego.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'omukulu w'abalaawe n'abatuuma amannya: Danyeri n'amutuuma Berutesazza: ne Kananiya n'amutuuma Saddulaaki: ne Misayeri n'amutuuma Mesaki: ne Azaliya n'amutuuma Abeduneego.