Daniel 1:8 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Danyeri n’amalirira mu mutima gwe obuteeyonoonyesa na mmere na wayini ebyavanga ku mmeeza ya kabaka, n’asaba Asupenaazi amukkirize aleme kweyonoonyesa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Danyeri n'ateesa mu mutima gwe obuteeyonoonyesanga ng'alya ku mmere, era ng'anywa ku mwenge ebyavanga ku mmeeza ya kabaka, n'asaba Asupenaazi amukirize aleme okweyonoonyesanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Daniyeli n'ateesa mu mutima gwe, obuteefuula atali mulongoofu ng'alya emmere, era ng'anywa omwenge ku lujjuliro lwa kabaka, kyeyava asaba Asupenazi amuyambe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Danyeri n'ateesa mu mutima gwe obuteeyonoonyesanga n'emmere ya kabaka, newakubadde n'omwenge gwe yanywanga: kyeyava asaba omukulu w'abalaawe aleme okweyonoonyesanga.