Daniel 10:1 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu mwaka ogwokusatu ogw’obufuzi bwa Kuulo kabaka w’e Buperusi, Danyeri eyayitibwanga Berutesazza n’afuna okwolesebwa okulala. Ekigambo kye yafuna kyali kya mazima nga kyogera ku lutalo olw’amaanyi. N’ategeera obubaka obwamuweebwa mu kwolesebwa okwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu mwaka ogwokusatu ogwa Kuulo kabaka w'e Buperusi ekigambo ne kibikkulirwa Danyeri, eyatuumibwa erinnya Berutesazza. Ekigambo kyali kya mazima, nga kifa ku ntalo ez'amaanyi: n'ategeera ekigambo, n'ategeera bye yayolesebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwaka ogwokusatu nga Kuuro ye kabaka wa Perusiya, obubaka ne bubikkulirwa Daniyeli, eyatuumibwa erinnya Belutesazzari. Obubaka obwo bwali bwa mazima, era nga bufa ku lutalo olw'amaanyi. N'abutegeera, nga bumunnyonnyolerwa mu kulabikirwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu mwaka ogw'okusatu ogwa Kuulo kabaka w'e Buperusi ekigambo kyabikkulirwa Danyeri, eyatuumibwa erinnya Berutesazza; n'ekigambo kyali kya mazima, ze ntalo ennene: n'ategeera ekigambo, n'ategeera bye yayolesebwa.