Daniel 10:11 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’aŋŋamba nti, “Danyeri, ggwe omusajja omwagalwa ennyo, tegeera era osseeyo omwoyo ku bigambo bye njogera naawe, era yimuka oyimirire kubanga ntumiddwa gy’oli.” Awo bwe yayogera ebigambo ebyo gye ndi ne nnyimirira nga nkankana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'aŋŋamba nti, “Ggwe Danyeri, ggwe omusajja omwagalwa ennyo, ssaayo omwoyo ku bigambo bye nkugamba, situka oyimirire. Ntumiddwa gy'oli.” Bwe yamala okuŋŋamba ebigambo ebyo, ne nnyimirira nga nkankana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'aŋŋamba nti: “Daniyeli, ggwe omuntu ayagalwa ennyo, ssaayo omwoyo ku bye nkugamba, era situka oyimirire. Ntumiddwa gy'oli.” Bwe yamala okuŋŋamba ebigambo ebyo, ne nnyimirira nga nkankana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'aŋŋamba nti Ggwe Danyeri, ggwe omusajja omwagalwa ennyo, tegeera ebigambo bye nkugamba, weesimbe; kubanga eri ggwe gye ntumiddwa kaakano: era bwe yamala okuŋŋamba ekigambo ekyo, ne nnyimirira nga nkankana.