Daniel 10:12 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’alyoka aŋŋamba nti, “Totya Danyeri, kubanga okuva ku lunaku olwasooka lwe wamalirira okutegeera ne weetoowaza mu maaso ga Katonda wo, ebigambo byo byawulirwa, era nzize olw’ebigambo byo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'alyoka aŋŋamba nti, “Totya Danyeri: kubanga okuva ku lunaku lwe wasookerako okuteekateeka omutima gwo okutegeera, n'okwewombeeka mu maaso ga Katonda wo, ebigambo byo byawulirwa: nange nzize olw'ebigambo byo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'aŋŋamba nti: “Daniyeli, leka kutya, kubanga okuva ku lunaku lwe watandikirako okuteekateeka omutima gwo okutegeera, ne weetoowaza mu maaso g'Omutonzi wo, ensonga zo zaawulirwa, era ze zindeese.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'alyoka aŋŋamba nti Totya, Danyeri: kubanga okuva ku lunaku lwe wasookerako okuteekateeka omutima gwo okutegeera, n'okwewombeeka mu maaso ga Katonda wo, ebigambo byo byawulirwa: nange nzize olw'ebigambo byo.