Daniel 10:13 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Namala ennaku amakumi abiri mu lumu nga nkyalwana n’omulangira w’e Buperusi, naye Mikayiri omu ku balangira abakulu n’ajja n’annyamba, kubanga kabaka w’e Buperusi yali ankwatidde eyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye omulangira ow'obwakabaka obw'e Buperusi n'anziyiza okumala ennaku abiri mu lumu (21) naye, Mikayiri, omu ku balangira abakulu, n'ajja okunnyamba. Ne mmulekayo ng'ali wamu ne bakabaka ab'e Buperusi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka omulangira ow'obwakabaka bwa Perusiya, amaze ennaku amakumi abiri mu lumu ng'anziyizza. Wabula Mikayeli, omu ku balangira abakulu, n'ajja n'annyamba. Ne mmulekayo ng'ali wamu ne bakabaka ab'e Perusiya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye omulangira ow'obwakabaka obw'e Buperusi n'anziyiza ennaku abiri mu lumu: naye, laba, Mikayiri, omu ku balangira abakulu, n'ajja okunnyamba: ne mbeera eyo wamu ne bakabaka ab'e Buperusi.