Daniel 10:16 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne wajja eyafaanana ng’omuntu n’akoma ku mimwa gyange, ne ntanula okwogera. Ne ŋŋamba eyali annyimiridde mu maaso nti, “Mukama wange nzijjudde obuyinike, era n’amaanyi sirina olw’ebyo bye njolesebbwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo eyafaanana ng'abaana b'abantu n'akoma ku mimwa gyange, ne ndyoka njogera. Ne ŋŋamba oyo eyali annyimiridde mu maaso nti, “Ayi mukama wange, ebyo bye nnayolesebwa bindetedde okunakuwala kungi. Sikyalinamu maanyi nakatono.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyo afaanana ng'omuntu n'akoona ku mimwa gyange, ne ntandika okwogera. Ne ŋŋamba oyo annyimiridde mu maaso nti: “Mukama wange, okulabikirwa kuno kundeetedde okunakuwala kungi. Sisigazizzaamu twanyi n'akamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era, laba, eyafaanana ng'abaana b'abantu n'akoma hu mimwa gyange: ne ndyoka njasama akamwa kange, ne njogera, ne ŋŋamba oyo annyimiridde mu maaso gange nti Ai mukama wange, olw'ebyo bye nnayolesebwa ennaku zange ne zinziramu, ne siba na maanyi nate.