Daniel 10:19 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’aŋŋamba nti, “Ggwe omwagalwa ennyo, totya. Emirembe gibeere gy’oli, guma omwoyo era beera n’obuvumu.” Awo bwe yayogera nange, ne nziramu amaanyi, ne njogera nti, “Yogera mukama wange, kubanga onzizizzaamu amaanyi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agamba nti, “Ggwe omusajja omwagalwa ennyo, totya, Emirembe gibe naawe. Ddamu amaanyi, guma.” Awo bwe yayogera nange bwatyo, ne nziramu nate amaanyi, ne njogera nti, “Mukama wange, yogera, kubanga onzizizzaamu amaanyi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba nti: “Ggwe, omuntu ayagalwa ennyo, totya. Emirembe gibe naawe. Ddamu amaanyi, ogume.” Bwe yayogera nange bw'atyo, ne neeyongera okuddamu amaanyi, ne ŋŋamba nti: “Mukama wange, yogera, kubanga onzizizzaamu amaanyi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Ggwe omusajja omwagalwa ennyo, totya: emirembe gibeere gy'oli, beera n'amaanyi, weewaawo, beera n'amaanyi. Awo bwe yayogera nange, ne mpeebwa amaanyi, ne njogera nti Mukama wange ayogere: kubanga ompadde amaanyi.