Daniel 10:20 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’alyoka ayogera nti, “Ekindeese gy’oli okimanyi? Mu bbanga eritali ly’ewala, nzija kuddayo okulwanyisa omulangira ow’e Buperusi, era bwe ndimuwangula, omulangira ow’e Buyonaani alijja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'alyoka ayogera nti, “Omanyi kyenvudde njija gy'oli? Kaakano nzirayo okulwana n'omulangira ow'e Buperusi. Bwe nnaavaayo, olwo nga omulangira ow'e Buyonaani ajja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba nti: “Omanyi kyenvudde nzija gy'oli? Kaakano, ŋŋenda kuddayo okulwanyisa omulangira owa Perusiya. Bwe nnaavawo, olwo omulangira wa Buyonaani anajja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'alyoka ayogera nti Omanyi kyenvudde njija gy'oli? ne kaakano naddayo okulwana n'omulangira ow'e Buperusi: era bwe ndivaayo, laba, omulangira ow'e Buyonaani alijja.