Daniel 10:21 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye okusooka byonna, ka nkutegeeze ebyawandiikibwa ebiri mu kitabo eky’amazima: Tewali n’omu ambeera okuggyako Mikayiri, omulangira wammwe abakuuma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye nnaakubuulira ebyawandiikibwa mu byawandiikibwa eby'amazima. Tewali mulala ali nange okubalwanyisa, wabula Mikaeri, omulangira wammwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye nja kukubuulira ebyawandiikibwa mu kitabo ky'eby'amazima. Tewali mulala ankwatirako okulwanyisa abo, wabula Mikayeli omulangira wammwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye naakubuulira ebyawandiikibwa mu byawandiikibwa eby'amazima: so siwali ali ku luuyi lwange okulwanyisa abo, wabula Mikaeri, omulangira wammwe.