Daniel 10:6 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omubiri gwe gwali gumasamasa ng’ejjinja erya berulo, n’ekyenyi kye nga kiri ng’okumyansa okw’eggulu, n’amaaso ge nga gali ng’ettabaaza ez’omuliro, n’emikono gye n’amagulu ge nga biri ng’ebbala ly’ekikomo ekizigule, n’eddoboozi lye ng’oluyoogaano olw’ekibiina ekinene.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omubiri gwe gwali gutemagana ng'ejjinja berulo, n'obwenyi bwe bwali ng'okumyansa kw'eggulu, n'amaaso ge nga galinga ettaala z'omuliro, emikono gye n'amagulu ge, byali ng'ekikomo ekizigule. Nga bw'ayogera, eddoboozi lye nga liri nga ery'ekibiina ekinene.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omubiri gwe gwali gutemagana ng'ejjinja ery'omuwendo, obwenyi bwe bwali ng'okumyansa kw'eggulu, n'amaaso ge nga gaaka ng'omuliro. Emikono gye n'amagulu ge, byali ng'ekikomo ekizigule. Nga bw'ayogera, eddoboozi lye liri ng'ery'abantu abangi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era n'omubiri gwe gwali nga berulo, n'obwenyi bwe ng'okumyansa bwe kufaanana, n'amaaso ge ng'ettabaaza z'omuliro, n'emikono gye n'ebigere bye byali ng'ekikomo ekizigule ebbala, n'eddoboozi ly'ebigambo bye ng'eddoboozi ery'ekibiina ekinene.