Daniel 10:7 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nze Danyeri nzekka, nze nalaba okwolesebwa okwo, abasajja be nnali nabo tebaakulaba, wabula bajjula entiisa, ne badduka ne beekweka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nange Danyeri, nze nzekka nnalaba bye nnayolesebwa: kubanga abantu abaali nange tebaalaba bye nnayolesebwa: naye okukankana okunene ne kubagwako, ne badduka okwekweka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze Daniyeli nzekka, nze nalaba omuntu oyo mu kulabikirwa okwo. Abantu abaali nange, tebaliiko kye baalaba, wabula baatya nnyo ne badduka, ne beekweka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nange Danyeri nalaba bye nnayolesebwa nze nzekka: kubanga abantu abaali nange tebaalaba bye nnayolesebwa: naye okukankana okunene ne kubagwako, ne badduka okwekweka.