Daniel 10:8 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne nsigala nzekka, nga neewuunya okwolesebwa okunene okwo; ne nzigwamu amaanyi; amaaso gange ne gayongobera, ne mba, nga seesobola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne nsigalawo bw'omu, ne ndaba ebigambo ebyo ebikulu bye nnayolesebwa, mu nze ne mutasigala maanyi n'akatono. Embeera yange yonna n'ekyukira ddala, amaanyi neganzigweramu ddala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne nsigalawo bwomu, ne ntunuulira bino ebyewuunyisa bye nalaba mu kulabikirwa. Mu nze ne mutasigalamu maanyi n'akatono. Entunula yange n'ebijjira ddala, ng'omuntu andaba tayinza kuntegeera. Ne nnafuyira ddala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo nze ne nsigala omu ne ndaba ebigambo ebyo ebikulu bye nnayolesebwa, so ne mutasigala mu nze maanyi gonna: kubanga obulungi bwange ne bufuuka obuvundu mu nze, ne ssiba na maanyi nate.