Daniel 10:9 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne mpulira ng’ayogera, era bwe nnali nga nkyamuwuliriza, ne neebaka otulo tungi nnyo, amaaso gange nga gatunudde wansi ku ttaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye n'awulira ebigambo bye yali ayogera: bwe nnawulira ebigambo bye, ne ngalamira ku ttaka nga nneevuunise, nnenkwatibwa otulo otungi ennyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka nawulira eddoboozi lye ng'ayogera. Bwe nawulira eddoboozi lye ng'ayogera, ne nzigweramu ddala akategeera, ne ngalamira ku ttaka nga nneevuunise.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naye ne mpulira eddoboozi ery'ebigambo bye: era bwe nnawulira eddoboozi ery'ebigambo bye nali nneebase otulo tungi nga nvuunamye amaaso gange, amaaso gange nga gatunuulira ettaka.