Daniel 11:10 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Batabani be balyeteekateeka ne bakuŋŋaanya eggye eddene era balisaanyaawo ensi eyo ng’amazzi aganjaala n’amaanyi, era balituuka ku lubiri lwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Batabani be balirwana, balikuŋŋaanya eggye eddene, eririyitirira, eriryanjaala, ne likuba abalabe ne libayitamu, ne lituukira ddala ku kigo kyabwe ekigumu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Batabani be balyeteekerateekera olutalo, ne bakuŋŋaanya eggye eddene ennyo, eririjja ne lyanjaala, ne likuba abalabe, ne libayitamu, ne lituukira ddala ku kigo kyabwe ekigumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abaana be balirwana, era balikuŋŋaanya ekibiina ekinene, eggye eringi, eririyitirira, eriryanjaala, ne libayitamu: era balikomawo, balirwana, okutuuka awali ekigo kye.