Daniel 11:13 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe waliyitawo ebbanga kabaka w’obukiikakkono alikuŋŋaanya n’afuna eggye eddene okusinga ery’olubereberye, n’oluvannyuma lw’emyaka emingi, alirumba n’eggye lye ng’alina ebyokulwanyisa ebiwera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka w'obukiikakkono alikuŋŋaanya eggye ddene erisinga lye yalina olubereberye: ekiseera kirituuka nga wayiseewo emyaka, alikomawo n'eggye lye eddene n'eby'okulwanyisa bingi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kabaka w'ebukiikakkono aliddayo ewuwe, n'akuŋŋaanya eggye eddene okusinga eryasooka. Ekiseera kirituuka, nga wayiseewo emyaka, n'akomawo ng'amaliridde, ng'alina eggye ddene n'ebyokulwanyisa bingi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne kabaka w'obukiika obwa kkono alikomawo, era aligaba ekibiina ekisinga eky'olubereberye: era alijja ebiseera bwe biriggwaako, gye myaka, ng'alina eggye eddene n'ebintu ebingi.