Daniel 11:14 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mu biro ebyo bangi balijeemera kabaka w’obukiikaddyo; era n’abasajja ab’effujjo ab’omu ggwanga lyo balitandika okujeema, naye baliremwa, ebigambo bye wayolesebwa bituukirire.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne mu biro ebyo walibaawo bangi abalisituka okulwana ne kabaka w'obukiikaddyo. Era abantu abamu ab'ettima ab'omu ggwanga lyo, balijeema okutuukiriza ebyo byewayolesebwa, naye baliremwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era mu biseera ebyo, walibaawo bangi abalisituka okulwanyisa kabaka w'ebukiikaddyo. Era abantu abamu abakambwe ab'omu ggwanga lyo, ggwe Daniyeli, balijeema okutuukiriza ebyalabibwa mu kulabikirwa, naye baliremwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mu biro ebyo walibaawo abangi abaliyimirira okulwana ne kabaka w'obukiika obwa ddyo: era n'abaana b'abo abalina ettima mu bantu bo balyegolokosa okunyweza ebikwolesebbwa: naye baligwa.