Daniel 11:15 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka w’obukiikakkono alijja n’akola ebifunvu era aliwamba ekibuga ekiriko bbugwe. Eggye ery’omu bukiikaddyo teririsobola kumulwanyisa, newaakubadde abaserikale baabwe abatendeke abakugu ennyo okumusobola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka w'obukiikakkono alijja, n'azingiza ekibuga ekiriko ebigo ebigumu n'akiwamba. Amaggye g'ebukiikaddyo tegalisobola kumulwanyisa, newakubadde abasserikale be abazira tebaliba n'amaanyi kumulwanyisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka w'ebukiikakkono alijja n'azingiza ekibuga ekiriko ebigo ebigumu, n'akiwamba. Amagye g'ebukiikaddyo tegalisobola kumulwanyisa, newaakubadde abaserikale abasingira ddala obuzira mu go, tebaliba na maanyi gamala okumusobola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka w'obukiika obwa kkono alijja, alikuba olusozi, alirya ekibuga ekiriko ebigo ebingi: n'emikono egy'obukiika obwa ddyo tegiribasobola, newakubadde abantu be abalonde, so tewaliba maanyi gonna okubasobola.