Daniel 11:16 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oyo alibalumba, alikola nga bw’ayagala so tewaliba n’omu alimuziyiza; era alyenyweza mu nsi ennungi, yonna n’ebeera mu buyinza bwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka oyo alumbye, alikola nga bw'ayagala, tewaliba ayinza kumuziyiza. Era aliyimirira mu nsi ey'ekitiibwa, eribeera mu buyinza bwe, ng'ayinza n'okugizikiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka alumbye, alikola nga bw'ayagala. Tewaliba ayinza kumuziyiza. Era aliyimirira mu Nsi Eyeekitiibwa, yonna n'ebeera mu buyinza bwe, ng'ayinza n'okugizikiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye oyo ajja okumulumba alikola nga bw'ayagala ye, so tewaliba ayimirira mu maaso ge: era aliyimirira mu nsi ey'ekitiibwa, ne mu mukono gwe mulibaamu okuzikiriza.