Daniel 11:17 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Alijja n’ekitiibwa eky’obwakabaka bwe kyonna ng’amaliridde okukola endagaano ne kabaka w’obukiikaddyo. Alimuwa muwala we okumufumbirwa awambe obwakabaka, naye enteekateeka ye terituukirira newaakubadde okumuyamba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka w'ebukiikakkono, alitegeka okukozesa amaanyi gonna ag'obwakabaka bwe okujja okumulumba. Era alikola nga bwalyagala: era aliwa kabaka w'ebukiikaddyo omwana ow'obuwala okumuwasa. Naye n'ekyo tekirimuyamba n'akatono.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kabaka w'ebukiikakkono, alitegeka okweyambisa amaanyi gonna ag'obwakabaka bwe okujja okulumba. Alikola endagaano ey'emirembe ne kabaka oyo ow'ebukiikaddyo, era olw'okwagala okumusekeeterera, alimuwa n'omwana ow'obuwala okumuwasa. Kyokka n'ekyo tekirikola, era tekirimuyamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo alikyusa amaaso ge okujja n'amaanyi ag'obwakabaka bwe bwonna, n'ab'amazima nga bali wamu naye: era alikola by'alyagala: era alimuwa omuwala w'abakazi, okumwonoona: naye taliyimirira, so talimuyamba ye.