Daniel 11:18 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’oluvannyuma alikyuka n’alumba ensi ey’oku mabbali g’ennyanja n’agiwamba; naye walibaawo omuduumizi alikomya okujooga kwe, n’amwesasuza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oluvannyuma lw'ebyo alikyuka n'alumba ebizinga, era aliwangula bingi: kyokka omuduumizi w'eggye eririva awalala alikomya ejjoogo lye, era alimukolera ddala nga naye bweyakola abalala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo bwe biriggwa, alikyuka n'alumba ebizinga, era aliwangula bingi. Kyokka omuduumizi w'amagye amagwira alikomya ejjoogo lye. Ddala alimujooga nga naye bwe yajooganga abalala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oluvannyuma lw'ebyo alikyusa amaaso ge awali ebizinga, aliryako bingi: naye omukulu alikomya ekivume oyo kye yaleeta: era naye alimuddizaayo ekivume kye.