Daniel 11:19 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma lw’ebyo alikyuka okwagala okuddayo mu mbiri ez’omu nsi ye, naye alyesittalira mu kkubo n’agwa, n’ataddayo kulabika.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka oyo alikyuka n'addayo mu bigo ebigumu eby'omu nsi ye, era aliwangulwa n'ataddayo kulabikako nate.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka oyo aliddayo mu bigo ebigumu eby'omu nsi ye, kyokka aliwangulwa n'ataddayo kulabikako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'alyoka akyusa amaaso ge awali ebigo eby'omu nsi ye ye: naye alyesittala, aligwa, so talirabika.