Daniel 11:2 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kaakano nnaakutegeeza eby’amazima: Bakabaka basatu abalala balifuga mu Buperusi, n’owookuna aliba mugagga nnyo okusinga bali bonna; era bw’alimala okwenyweza olw’obugagga bwe, alikubiriza bonna okujeemera obwakabaka obwa Buyonaani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era kaakano nnaakutegeeza amazima. Walisitukawo bakabaka abalala basatu mu Buperusi, naye ow'okuna alibaddirira, alibasinga bonna obugagga: bw'alimala okufuuka ow'amaanyi olw'obugagga bwe, alikubiriza bonna okulwana n'obwakabaka obw'e Buyonaani,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era kaakano ka nkutegeeze amazima: walisitukawo bakabaka abalala basatu mu Perusiya, ate owookuna alibaddirira, aliba mugagga okusinga abo bonna, era bw'alimala okufuuka ow'amaanyi olw'obugagga bwe, alipikiriza bonna okulwanyisa obwakabaka bwa Buyonaani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne kaakano naakulaga amazima. Laba, waliyimirira nate bakabaka abasatu mu Buperusi: n'ow'okuna ye alisingira ddala nnyo bonna obugagga: era bw'alifuuka ow'amaanyi olw'obugagga bwe, alikubiriza bonna okulwana n'obwakabaka obw'e Buyonaani.