Daniel 11:20 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Alimusikira, aliweereza omusolooza w’omusolo alituukiriza eby’obwakabaka, naye mu nnaku ntono alizikirizibwa, si mu lutalo newaakubadde mu busungu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Alisikirwa kabaka omulala, aliteekawo omusolooza w'omusolo mu bwakabaka bwe. Naye mu bbanga ttono alizikirizibwa, awatali luyombo wadde olutalo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Alisikirwa kabaka omulala. Kabaka oyo omulala, aliteekawo omusolooza w'omusolo alitulugunya abantu mu kubaggyako omusolo, okukuŋŋaanya obugagga mu bwakabaka bwe. Kyokka mu bbanga ttono, kabaka oyo alittibwa awatali luyombo wadde olutalo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne walyoka wayimirira mu kifo kye omu aliyisa omusolooza mu kitiibwa eky'obwakabaka: naye mu nnaku si nnyingi alizikirizibwa, si mu busungu, newakubadde mu ntalo.