Daniel 11:21 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Alidda mu kifo ky’oyo, aliba musajja mubi nnyo naye nga taweereddwa buyinza buva eri kabaka. Alirumba obwakabaka abantu nga batudde ntende, n’abuwamba ng’akozesa enkwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne mu kifo kye muliddamu omuntu anyoomebwa, gwe batawanga kitiibwa kya bwakabaka: naye alijja mu biro eby'emirembe, era aliweebwa obwakabaka olw'okwegonza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyo afaanana ng'omuntu, n'ayongera okuŋŋamba nti: “Mu kifo kya kabaka oyo, waliddawo omuntu atasaanidde kuba kabaka. Oyo alijja nga tebategedde, n'afuuka kabaka, ng'ayita mu nkwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mu kifo kye muliyimirira omuntu anyoomebwa, gwe batawanga kitiibwa kya bwakabaka: naye alijja mu biro eby'emirembe, era aliweebwa obwakabaka olw'okwegonza.