Daniel 11:23 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bw’alimala okukola endagaano naye, alibeefuulira, n’aba w’amaanyi ng’ayambibwako abantu batono.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Alirimbalimba ab'amawanga amalala ng'akola nabo endagaano, n'afuuka wa maanyi, newakubadde nga alina abantu batono.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Alirimbalimba ab'amawanga amalala ng'akola nabo endagaano, n'afuuka wa maanyi, wadde ng'abantu b'alina batono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nga bamaze okulagaana naye alikola eby'obukuusa: kubanga alirinnya, era alifuuka ow'amaanyi, ng'alina abantu si bangi.