Daniel 11:24 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu biro eby’emirembe, alirumba amasaza amagagga, nga tebamwetegekedde, n’akola bajjajjaabe bye bataakolanga newaakubadde bajjajja ba bajjajjaabe. Aligabula abagoberezi be, ebinyage n’obugagga, ne yeekobaana okuwamba embiri, naye ekyo kirimala akaseera katono.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Alirumba ebitundu ebisinga obugagga nga tebitegedde, era alikola bajjajjaabe bye bataakolanga, newakubadde bajjajja ba bajjajjaabe. Aligabira abawagizi be omunyago ogw'abantu n'ogw'ebintu gw'anyaze mu lutalo. Alikola entegeka okulumba ebigo ebigumu, naye ekyo kirimala akaseera katono.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebitundu ebisinga obugagga, alibirumba nga tebitegedde, era alikola ebyo bajjajjaabe bonna bye bataakola. Aligabira abawagizi be omunyago ogw'abantu n'ogw'ebintu gw'anyaze mu lutalo. Alikola entegeka okulumba ebigo ebigumu, naye ekyo kirimala akaseera katono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu biro eby'emirembe alijjira n'ebifo ebisinga obugimu eby'omu ssaza: era alikola bajjajjaabe bye bataakolanga, newakubadde bajjajja ba bajjajjaabe: alibagabira omwandu n'omunyago n'obugagga: weewaawo, alisalira enkwe ze ebigo, okumala ekiseera.