Daniel 11:25 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Alikuŋŋaanya eggye ddene mu maanyi ge n’obuvumu bwe n’alumba kabaka w’obukiikaddyo. Kabaka w’obukiikaddyo alyerwanako n’eggye eddene era ery’amaanyi ennyo; naye talimuyinza olw’enkwe ze baamusalira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Alimalirira n'obuvumu, okulwanyisa kabaka w'obukiikaddyo nga alina eggye ddene. Ne kabaka w'obukiikaddyo, alitegeka eggye eddene okulwana olutalo, kyokka taliwangula, kubanga balimusalira olukwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Alimalirira n'obuvumu, n'akuŋŋaanya eggye ddene, okulumba kabaka w'ebukiikaddyo. Ne kabaka w'ebukiikaddyo, alitegeka eggye eddene era ery'amaanyi okulwana olutalo, kyokka taliwangula, kubanga balimusalira enkwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era alisasamaza obuyinza bwe n'obuzira bwe okulwanyisa kabaka w'obukiika obwa ddyo n'eggye eringi: ne kabaka w'obukiika obwa ddyo alirwana entalo n'eggye eringi ennyo, ery'amaanyi amangi: naye taliyimirira, kubanga balimusalira enkwe.