Daniel 11:27 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bakabaka bombi abaamalirira okukola eby’ekyejo mu mitima gyabwe, balituula ku mmeeza emu, ne bakuusagana naye tewalibaawo kya mazima kiteesebwa kubanga enkomerero erituuka mu biro ebyalagirwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bakabaka abo bombi emitima gyabwe giriba gya kukola bubi, era balirimbagana nga batudde ku mmeeza emu. Naye bye balowooza tebirituukirira, kubanga ekiseera ekyateekebwawo okuba eky'enkomerero kiriba tekinnatuuka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emitima gya bakabaka abo bombi girirowooza kukolaganako bya bulabe, era buli omu alirimba munne nga batudde ku mmeeza emu. Naye kye baagala tekirituukirira, kubanga ekiseera ekyateekebwawo okuba eky'enkomerero, kiriba tekinnatuuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bakabaka abo bombi emitima gyabwe giriba gya kukola bubi, era balyogera eby'obulimba nga batudde ku mmeeza emu: naye tebiriraba mukisa: kubanga enkomerero erituuka mu biro ebyalagirwa era.